Omwogezi wa Uganda Police ow’ettundutundu lye Kigezi IP Elly Maate avuddeyo nategeeza nga Poliisi e Kisoro bwekutte abantu babiri abagambibwa nti balabikidde mu katambi akatambudde ku social media nga banyumya aka Kyagera ku luguudo mu Kisoro Municipality.
Abakwatiddwa ye; Hafashimana Paskari, 29 nga muvuzi wa booda booda, mutuuze ku kyalo Migeshi, Rwaramba parish ne Muhawenimana Colodine Mukamulenzi, 24 omutuuze w’e Nyakinama subcounty mu Disitulikiti y’e Kisoro.
Bano bagenda kutwalibwa mu kkooti bavunaanibwe omusango gwokukola ekikolwa ekyesitaza mu bantu.