Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya twolekedde Akaseerezi era ku nnya ekiro lindirira enkabikkabi zabakontanyi nendukusa zaabwe nga News: Enkuba ekedde okutonnya etaataganyizza omulimu gwokutambuza ebigezo bya Siniya eyookuna. News: Hon. Zambaali Bulasio Mukasa
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 430 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Poliisi ekutte 5 e Gayaaza, omukyala adduse – Luke Owoyesigyire

April 9, 2023 · Mubiru Ali
Omumyuuka w’omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police Luke Owoyesigyire avuddeyo nategeeza nga Poliisi bweyatemezebwako nti waliwo ababbi abaali babagalidde ebisse mu Gayaza Trading Centre, Gayaza Ward, Kasangati Town Council, mu Disitulikiti y’e Wakiso. Poliisi bwetyo yayimbula basajja baayo okuva ku Kasangati Police Station abakola ekikwekweto nebakwata abantu 5 nga bano kuliko; Kawoya Charles 17, Sekubuge Akiram 23, Mwesigwa Enock 32, Sagara Denis 27, ne Mwanja Ivan 31. Wabula ye Nekesa Rachael 29 ng’ono mukyala wa Richard Mwesigwe omuduumizi w’ekibinja kino ye yadduka.
Poliisi yazuula ejjambiya 8 eziwagaddwa, ensuululu 6, sipanda 5, piki piki 2 UEF 094E Yamaha nga myuufu ne UEK 221S Bajaj boxer myuufu, ne bokisi erimu emisumaali.
Kyategeerekese nti bano baali bateekateeka kulumba bitundu by’e Namugongo. Okunoonyereza kukyagenda mu maaso okuli n’okwaza amayumba mwebabadde basula wamu n’okunoonya abo abadduse.