Poliisi ekutte 2 abagambibwa nti benyigira mu bubbi e Mukono

Ekitongole kya Uganda Police ekirwanyisa obuzigu obw’emmundu ekya Flying Squad Unit nga kikole wamu ne Poliisi y’e Mukono bakutte abantu 2 abalowoozebwa okuba nga benyigira mu bubbi obw’emmundu ku Spice Supermarket esangibwa ku Ssatu, Namubiru ward, Mukono Central Division mu Mukono Municipality nga 25.06.2022.

Abakwatiddwa balabwako ku lunaku lwebabbirako nga banywa mu bbaala ya Cloud 9 okuliraana Supermarket. Abakwatiddwa kuliko; Mugalu William 24, omutuuze w’e Nasuuti cell, Ntawo ward, Mukono Central ne Mbogo Sam 23, nga mutuuze w’e Nasuuti cell, Ntawo ward, Mukono Municipality. Bano balonkomeddwa omu kubabalaba  nga batoloka okuva mu kifo.

Add Your Comment