Breaking
News: Abakungu okuva mu Immigration bavuddeyo nebakakasa nga Munnamateeka era omulwanirizi weddembe Aloikin Praise Opoloje bweyakwatiddwa ku kisaawe News: Abanoonyi bobuddamu bakedde kwekalakaasiza ku kitebe kyAmawanga amagatte ekivunaanyizibwa ku banoonyi bobuddamu ekya United Nations High News: Nga 22 January 2027 ku Sheraton Gardens mu Kampala Omulangira Ndausi ategese ekivvulu kwagenda okujaguliza emyaka 35 mu media. Tubeeyo tumuwagire.
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing · 378 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM
News

Poliisi ezudde emotoka 10 ezibadde zabbibwa

November 23, 2023 · Mubiru Ali
SCP Namutebi Hadijaha avuddeyo nategeeza nga ttiimu yabasirikale ba Uganda Police Force okuva mu Flying Squad bwebakola ekikwekweto nga 26 October, 2023, mu Kampala n’emiriraano nekigendererwa ekyokukwata ababbi b’emotoka mwebakwatira Kisuule Juma okubayambako mu kunoonyereza. Bweyabuuzibwa ono yalonkoma banne bwebabba wamu n’okutunda emotoka era banne bano nebakwatibwa nga basangibwa Wobulenzi mu Disitulikiti y’e Luwero nga bano kuliko; Kavuma Godfrey, Sekindu Henry Kakuru ne MulindaSepriano.
Bwebakunya Kavuma ne Ssenkindu bakiriza okwenyigira mu bubbi bw’emotoka era bano bawa Poliisi ebifo wham n’abantu abalala bebabba nabo emotoka.
Kavuma yabatwala e Nakasongola ne Masaka gyebazuula emotoka eziwerako okuva ku bebaziguza.
Zino z’emotoka ezazuula
1) UAR 054S Ipsum Silver.
2) UAN 397 U Ipsum pearl white.
Nga zino zaggibwa Ganda Nansana
3) UBA 306F Noah pearl blue bagisanga ne Kavuma Muhammed e Nakasongola.
4) UAP 295T Noah white yaggibwa Kasubi mu Parking
5) UAS 293V yasangibwa ne Lukwago Amisi mu Nyendo – Masaka
6) UAY 073X Sienta white yasangibwa ne Kisule Musa mu Nyendo – Masaka.
7) UAH 131L Corona white yasangibwa ne Kayiwa mu Nyendo – Masaka.
8) UAV 360B – Premio white
9) UAP 898U Ipsum
10) UAQ 508D – Rav4.
Namutebi agama nti emotoka zabbibwa ekibinja kino neziguzibwa abantu abatakimanya nti zaali nzibe. Abantu abalala bakyakwatibwa. Emotoka zino zikuumibwa ku kite cya Flying Squad, e Kireka.