POLIISI E MASAKA ETEMYEKO ENNAMBA KU MOTOKA ZABANADDIINI

Omubaka wa Pulezidenti e Masaka Bamwine Fred agambye nti nga ye Ssentebe w’akakiiko ka #COVID-19 alina okuvaayo okwetondera abo abayisiddwa obubi wabula nabajjukiza nti bakimanye nti ekyekango temanya muzira.
Ye OC Traffic Odongo Dickson agamba nti emotoka zibadde ziyitiridde mu Masaka ng’ate abamu abazivuga tebalina bipalati bibakiriza kuvuga motoka mukiseera kino ekyomuggalo, ayongedeko nti batemyeko nnamba zamotoka eziwerera ddala 100.
Agambye nti bona abakwatiddwa nga tebalina bipalati bagenda kutwalibwa mu Kkooti bavunaanibwe.
DPC we Masaka Twasagye David agambye nti ebikwekweto bikyagenda mumaaso nalabula aba booda booda abakyatikka abasaabaze.
Abasirikale bakozesezza obukambwe nga batemako nnamba zamotoka z’abantu nga bano tebatalizza ne motoka zabanaddiini, abasawo ssaako nemotoka za bakozi ba Gavumenti nabasawo.

0 Shares
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply