Police esambazze ebyogerwa nti Gen. Kayihura ali mu buwambe

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Police esambazze engambo ezibadde zitandise okubungeesebwa nti Omuduumizi wa Police mu ggwanga General Kale Kayihura ali mu buwambe.

Kino nno kiddiridde okutwala abamu ku bakulu mu Poliisi omuli ;  SSP Nixon Agasirwe mu kkooti y'amagye e Makindye nebaggulwako emisango gy'okubuzaawo munnansi w'eggwanga lya Rwanda. 

Bw'abadde ayogera mu lukungaana lwa Bannamawulire, Omwogezi w'ekitongole kya Police Asan Kasingye agamba nti amawulire gabadde gayita ku mikutu emikwanira wala nga Ssaabapoliisi bw'ali mu buwambe, wabula n'ategeeza nti Kayihura ali na ku mirimu gye akakkalabya 

 

 

Share.

Leave A Reply