Breaking
News: Awali Omukka-Ssewandagi-Muhanga ayagala baggyewo ettaka lya Mayiro mu Buganda nga awalala balirina? News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Yanguwako tukulinze. News: Hon. Amelia Kyambadde atabukidde eyali Omubaka Hon.
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 497 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Ekkanisa ssi mulabe wa Gavumenti – Dr. Cyprian Kizito Lwanga

January 9, 2018 · Mubiru Ali

Ssaabasumba w'essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga ajjukizza era n'ategeeza Gavumenti nga ekkanisa bw'etali mulabe waayo ( Gavumenti) . 

Bw'abadde ayogera ku mukolo gw'okuziika eyali Ssaabalabirizi w'ekkanisa ya Yuganda, Dr. Livingstone Nkoyooyo ku kiggwa kyabajulizi Abakulisitaayo e Namugongo, Dr. Cyprian ategeezezza nti ekkanisa eriwo okuwabula Gavumenti era n'agamba nti waliwo abakungu ba Gavumenti abagiwa amawuire amakyamu ku bakulembeze b'eddiini nga abantu abo beenonyeza byaabwe.

Ye Ssaabalabirizi w'ekkanisa ya Yuganda, Rt. Rev. Stanely Ntagali nga y'akulembeddemu okusabira Omugenzi Nkoyooyo, agambye nti eggwanga lino lyetaaga okusabirwa n'okuwonyezebwa abakulembeze basobole okufa ku by'etaago bya bannansi bebakulembera .