Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matendo etinta tinta ku abiri mu ettaano. News: Chairperson wa UWOPA Agnes Auna avuddeyo nategeeza nga bwatagenda kutiisitiisibwa Kabanda. News: Abakungu okuva mu Immigration bavuddeyo nebakakasa nga Munnamateeka era omulwanirizi weddembe Aloikin Praise Opoloje bweyakwatiddwa ku kisaawe
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 172 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM
News

Poliisi ekutte ddereeva eyabadde atomera omusirikale

June 14, 2023 · Mubiru Ali
Omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police Patrick Onyango avuddeyo nategeeza nga bwebakutte ddereeva w’emotoka nnamba UAZ 515C eyalabikira mu katambi nga agezaako okutomera omusirikale wa Poliisi y’ebidduka Katongole Josam ku luguudo lwa Kampala Road. Ddereeva ono ategeerekese nti ye Mukwaya Isaac era bweyakwatiddwa yagezezzaako okulimba abasirikale nti mulwadde ngatadde kkanula ku mukono.
Mukwaya akuumirwa ku CPS mu Kampala, era nga aguddwako emisango 3 okuli; okuyita mu bitaala, okuvugisa ekimama wamu n’okugezaako okutta omuntu.