Police erinnye mu lukungaana lw’aba Togikwatako – Kasambya

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Police e Kasambya mu Disitulikiti y'e Mubende erinnye eggere mu lukiiko oluyitiddwa ababaka mu Palamenti aba Togikwatako okuli Theodore Sekikubo, Banarbas Tinkasimire, Patrick Nsamba wamu ne Mbwatekamwa Gaffa Louis era abamu kubo n'ebaggalira.

Kino kiddiridde bano okwegatta ku Mbwatekamwa Gaffa Louis omubaka mu Palamenti owa Kasambya  nebakuba olukungaana olwebuuza ku bantu ku nsonga ya Togikwatako mu ttawuni kkanso y'e Kasambya.

Omubaka Theodore Sekikubo ategeezezza nti yadde nga Police ekutte munnabwe Mbwatekamwa naye oluvanyuma emuyimbudde kukakalu ka Police 

Ye Simewo Nsubuga omubaka mu Palamenti  owa Kassanda ey'amaserengeta, alaze okutya nti ensonga z'okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti zitemyetemye nnyo mui bantu b'e Mubende wabula n'awera nti baakuggya ekkomo ku myaka gy' omukulembeze we ggwanga.

Share.

Leave A Reply