Radio Simba – Ennene

Kampala 97.3 FM Mubende 92.1 FM

Abawambye omuwala w’essomero Poliisi ebakutte

Abasajja babiri bakwatiddwa Poliisi ya Kampala n’emiriraano ku bigambibwa nti babadde bawambye omwana w’essomero ow’emyaka 17. Omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango agamba nti yawambiddwa mu bitundu by’e Katwe ku lw’okutaano mu ttuntu.

Abamuwambye babadde batambulira mu motoka ekika kya Toyota Nadia nnamba UAT 444D. Waliwo omuntu eyatemezza ku Poliisi y’e Katwe bwetyo netandika omuyiggo era okukkakana nga omuwala bamusudde e Nyanama.

Abakwatiddwa kuliko; Dalus Mawanda 39, omutuuze w’e Katwe-Bulenga ne Abby Zziwa alias Galaf 47, omutuuze w’e Kanyanya.

Leave a Reply

eskort escort mersin kahramanmaraş escort niğde escort