Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga….. News: Ba Directors, Management nAbakozi ba Radio Simba tutuusa okusaasira kwaffe eri abenju ya Alex Mukulu atuvudde ku maaso. News: Munnamateeka Kenneth Paul Kakande ……..Hon.
ON NOW Gospel Show ▶ UP NEXT Ebifudde mu wiiki 9:00 AM - 12:00 PM
Now Playing Simba FM Live
gospel show photo

On Air

Gospel Show

Prossy Kyeswa

7:00 AM - 9:00 AM 7:00 AM - 9:00 AM

Bwoba toyagala kusasula musolo, ssente zetwalire – MP Waluswaka

July 18, 2018 · Mubiru Ali

Omubaka wa NRM, Bunyole West Eng. James Waluswaka  ye agamba nti omusolo ku social media si mubi era simungi wabula obuzibu kuyiga bagusasula batya. Agamba nti ye yalina ssente ze naye nga tamanyi bwebagusasula yamala ekiro kiramba nga agezaako ogusasula abeera ku social media naye nga tamanyi bwebabikola.

Agamba kkampuni z’amasimu zifeeyo okulaba nti zisomesa abantu ku ngeri gyebasasulamu omusolo guno, kuba olaba omusolo guno gulema omubaka wa Palamenti okumanya bwebagusasula olwo munnakyalo.

Ayongera nagamba nti bwoba olaba bakusasuza omusolo emirundi ebiri ku mobile money ssente toziweereza zetwalire gyobadde ozisindika. Bw’obeera olaba nti Social Media yabbeeyi giveeko oba genda offe.