Pastor Bugingo enswera ekwagala… – Hajji Ashraf Ssimwogerere

#EbbaluwaYomuwuliriza
ASALAAM ALAIKUM WARAHMATILAHI WABARAKATUH.
Nasisinkana Pastor Bujingo nemubuuzaako omulundi gwange ogwasooka ku Hotel Africana, Charles James Ssenkubuge bweyali atongoza akatabo ke Ddaala ku ddaala. Kyanewuunyisa nti yali amanyi. Nali maze akabanga nga mpuliriza enjiri ye ku Bat Valley emabegako bwenalinga ninayo emizannyo.
Enjiri eno yali ya ssuubi, ate nga ku leediyo ye ne TV alinayo n’abatali Balokole abamukolera nga mulimu n’abasiraamu. Obuzibu bwe n’abakyala tebinkwatako kuba naye muntu. Ndwawo nnyo okuvaayo okwogera ku basajja n’abakyala ba Katonda wabula enjiri ye ku kutibwa kw’abawagizi ba People Power – Uganda kyekindeese okumuddamu. Bweyabadde abuulira yakubirizza abawagizi ba Kizza Besigye ne Bobi Wine naddala abavubuka okuwagirira ku midaala gyabwe. ‘Bawagirire ku midaala gyabwe’ okwewala okuttibwa. Yagenze mu maaso nategeeza nga Omusirikale wa Uganda Police Force anyiize bwatajja kutta Besigye oba Bobi Kyagulanyi wabula ajja kukuba omuwagizi essasi.
Omusumba nalemeddwa okutegeera kyewabadde otegeeza ‘okuwagirira ku midaala gyabwe’ kuba naawe olina ekkanisa nga tukimanyi bulungi olina abagoberezi (bayite abawagizi). Olina leediyo ne TV, abagoberezi bbo kwebasobola okuwuliriza oba okulabira enjiri yo nga bali mu maka gaabwe mu mirembe. Wabula Musumba ogenda mu maaso n’okubakubiriza okuggya mu kkanisa. Lwaki!?? Kuba oyagala ekkanisa yo okusigala nga yamugaso era ewulikika mu bantu. Ogenda mu maaso n’oteekawo n’emizindaalo egirekaana kuba balirwana bo bavaayo nebajogerako, wabula abo baveeko osigale nga oliisa kigambo kya Mukama. Kati nno bwekiri n’ebyobufuzi, ensonga ekubisa enkungaana kuba abawagizi basaana okuwulira enteekateeka z’abantu baabwe bebawagira, kati ebyo byonna banabiwulira ddi nga basigadde ku midaala gyabwe. Nkwewuunya!!
Mu gyensavu, Amiini yawera amakanisa, era nzijukira bulungi abakulisitu bangi batandika okulwanirira eddembe lyabwe era nga nabamu bakwata emmundu wadde sijja kwogera mannya gaabwe. Tebasigala ku midaala gyabwe kusabira eyo.
Musumba nkuwabula nga Musajja wa Katonfa, nga tonanenya bawagizi ba Bannabyabufuzi abawagira abantu baabwe mu mateeka, vvaayo onenye abantu babulijjo abatalina musango. Wavuddeyo nokyogera lunye nti omusirikale wa Uganda Police Force anyiize tajja kutta Besigye oba Bobi Wine, naye webuuze lwaki omusirikale oyo yomu atta omuwagizi!!?? Tuveeyo tuvumirire so si kususuuta basirikale ba Poliisi banyiize.
Kino kyaliwo kko ku mulembe gwa Obote ne Amin ab’ebyokwerinda bwebatandika okutta abantu ekyatutwala mu lutalo okulwanyisa emirembe egyo. Bannayuganda bangi baafa, wabula tusaanye twewale embeera eyo nga tuvumirira ekitta Bannayuganda abatalina musango.
Kuno kusaba kwange eri Pastor Bugingo, ssebo vvumirira ekitta bantu okusinga okumalamu abavubuka amaanyi okuwagira omuntu waabwe. Abavubuka bano tebalina gwebasse, naye babatta.
Bwenatunuulidde bamulekwa abato abo abali mu kifaananyi, nenzijukira bakadoodo abafiirwako abaabwe mu lutalo lwa Museveni abasigala nga bamulekwa ku myaka emito egyo. Tulwane nnyo okulaba nga ebyafaayo tebiddamu.
Onansonyiwa bwemba nkunyiizizza Musumba naye nsigala ndi mukwano ggwo anti ensowera ekwagala…..
Ku lwa Katonda n’ensi yange.
Hajj Ashraf Ssimwogerere.

No comments

Leave a Reply

LIsten Live

Sureman Ssegawa yatabye dda ku Luboggola Simba mu Program Tokamalirawo.

Sureman Ssegawa yatabye dda ku Luboggola Simba mu Program Tokamalirawo. ...

4 0 instagram icon
Mugiriko 🔥🔥🔥🤟🤟 Now 97.3 Tubuuza #Busolosolo Ki Bwomanyi Kuba #MoneyLender Be Uganda #SuremanSsegawa Atandise Now
#registerwithnvamubendefamily
#RadioSimba973

Mugiriko 🔥🔥🔥🤟🤟 Now 97.3 Tubuuza #Busolosolo Ki Bwomanyi Kuba #MoneyLender Be Uganda #SuremanSsegawa Atandise Now
#registerwithnvamubendefamily
#RadioSimba973
...

1 0 instagram icon
Abazigu ab’emmundu balumbye bbanka ya Equity ettabi erye Soroti mu kiro ekikeesezza olwaleero n’ekigendererwa eky’okunyaga ssente. Kino kireesewo obunkenke mu kitundu ab’ebyokwerinda bwebayiiriddwa okwetoloola ekibuga Soroti okutaasa embeera. Okukakana ngomukuumi wa kkampuni eyobwannanyini akwatuddwa ku bigambibwa nti yandiba nga yabadde mu lukwe luno.

Abazigu ab’emmundu balumbye bbanka ya Equity ettabi erye Soroti mu kiro ekikeesezza olwaleero n’ekigendererwa eky’okunyaga ssente. Kino kireesewo obunkenke mu kitundu ab’ebyokwerinda bwebayiiriddwa okwetoloola ekibuga Soroti okutaasa embeera. Okukakana ngomukuumi wa kkampuni eyobwannanyini akwatuddwa ku bigambibwa nti yandiba nga yabadde mu lukwe luno. ...

10 0 instagram icon
Ekibiina ky’ebyobufuzi ki NEED kyagala ekitongole ky’ebyenguudo ki Uganda National Roads Authority - UNRA ne Minisita w’ebyentambula, Gen. Edward Katumba Wamala baveeyo n’enteekateeka y’okulondoola omutindo gw’enguudo mu ggwanga okutaasa ebiyinza okuddirira. Aba NEED bagamba embeera y’enguudo yeraliikiriza olw’ebinnya ebiyitiridde n’enguudo ezimu okufuuka ganyegenya ekitadde obulamu bw’abantu matigga.

Ekibiina ky’ebyobufuzi ki NEED kyagala ekitongole ky’ebyenguudo ki Uganda National Roads Authority - UNRA ne Minisita w’ebyentambula, Gen. Edward Katumba Wamala baveeyo n’enteekateeka y’okulondoola omutindo gw’enguudo mu ggwanga okutaasa ebiyinza okuddirira. Aba NEED bagamba embeera y’enguudo yeraliikiriza olw’ebinnya ebiyitiridde n’enguudo ezimu okufuuka ganyegenya ekitadde obulamu bw’abantu matigga. ...

12 2 instagram icon