Ekyo ekikolwa kyabutitiizi – Hon. Kyagulanyi

Robert Kyagulanyi Ssentamu omubaka wa Kyaddondo East agamba nti ekikolwa kya Poliisi okusalako wooteri mweyasuze e Bugiri kikolwa kyabutitiizi. Poliisi enkya yaleero yakedde kufefetta Planet Hotel meyabadde asuubirwa okuba nga yasuze. Ono ali mu Bugiri nga anoonyeza munnajeema Asuman Basalirwa akalulu. Kigambibwa nti ne wooteri Basalirwa weyasuze yalumbiddwa.

Kyagulanyi agamba nti n’abantu be 16 abasangiddwa ku wooteri eno weyabadde asuubirwa okuba nga yasuze bakwatiddwa Poliisi ku nsonga ezigambibwa nti si batuuze be Bugiri.

Kino kizeewo oluvannyuma lw’omuwandiisi wa NRM Justine Kasule Lumumba okuvaayo ku Monday nagamba nti waliwo ekibinja ky’abantu nga bakuliddwamu Kyagulanyi nga benyigira mu bikolwa ebimenya amateeka.

Ye Omwogezi wa Poliisi mu Busoga East James Mubi agamba nti abakwatiddwa kigambibwa nti baabadde bateekateeka kumenya mateeka.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

Top Reviews

More Stories
Bakansala be Ssembabule bali mubwelarikirivu