OYIMBULA OTYA ABATEMU KU KAKALU KA KKOOTI! – HE. MUSEVENI

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Omuntu asse omuntu omuyimbula otya ku kakalu ka Kkooti? Kiki kyoba ogenderera?. Kino tekijja kukirizibwa; njagala kino tukikayaaneko kiggwe.
Lwaki oyimbula omuntu kukakalu, kiki ekikupakusa? Ani gwogezaako okusanyusa? Kino tugenda kukikolako.
Ngenga kuyita akabondo ka National Resistance Movement – NRM era bwekinaaba kyetaagisa tuteekewo akalulu k’ekikungo. Embeera bwegenda bweti, abantu kati bagenda kutandika okutwalira amateeka mu ngalo.”
Share.

Leave A Reply