Breaking
News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka,
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Neyimbira Byange 2026 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing · 473 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Wooto Walusimbi - Nampala Yusuf

Evening Sports 8:00 PM - 9:00 PM

Ekkubo ly’omusaalaba lyetabiddwamu nkumi na nkumi.

March 25, 2016 · Mubiru Ali
Okutambuza ekkubo ly'omusaalaba .
Okutambuza ekkubo ly’omusaalaba -Kampala

Ebikumi  n’ebikumi by’abagoberezi ba Yesu Kulisitu beegasse ku nsi yonna okutambuza omusaalaba okujjukira olunaku olwokutaano Yesu lweyabonyabonyezebwa ng’atambuza obusaalaba .

Olunaku luno Yesu Kulisitu lweyabonyabonyezebwa , okutulugunyizibwa , okutambuza omusaalaba wamu n’okukomererwa nga kati wayise emyaka 2016. Lweluvaako okufa kwe era okututuusa  ku mazuukirage .

Mu Yuganda n’okwetooloola ensi yonna , Abakulistaayo  beetikka omusaalaba ougabana ku bulumi Yesu Kulisitu bweyayitamu . na mukyo olwaleero abakulembeze b’enzikiriza bakulembeddemu okutambuza omusaalaba , okutendereza ate nga abalala basaba mu kasirise  .

Wano mu Kampala abakkirizza bakungaanidde Nakivubo mu Kisaawe mu kusaba okwawamu .

Wabula mukubuulirakwe , Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Yuganda Stanely Ntagali asabye okukuuma obukkakkamu wakati mu mbeera  nga eggwanga eby’obufuzi bilitadde ku bunkenke .

Okutambuza omusaalaba
Okutambuza omusaalaba – Mukono