Owa Poliisi akubye Munnamawulire teke

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Olunaku lweggulo bammemba ba “Torture Survivors Movement” bwebabadde batambula ku miggo okulaga obutali bumativu bwabwe okugenda mu maka omumyuuka wa Sipiika Anitah Among nga bagamba nti yabalaatira mu nsonga yokutulugunya omubaka wa Mityana Municipality Munnakibiina kya National Unity Platform – NUP MP Zaake Francis Butebi mu Palamenti. Munnmawulire wa Bukedde Lawrence Kitatta yakiguddeko omusirikale wa Uganda Police Force yamukubye natalantuka naggwa kata emotoka emulinnye.

Share.

Leave A Reply