Omusirikale wa Poliisi akwatiddwa e Bukomansimbi

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Kigambibwa nti waliwo omusirikale wa Uganda Police Force mu Disitulikiti y’e Bukomansimbi akwatiddwa Poliisi olwokubuulira Akakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku byokwerinda n’ensonga z’omunda mu Ggwanga ebisuubirwa nti byakyaama.
Akwatiddwa kigambibwa nti ye Maurice Abong ng’ono yakulira Police Post y’e Misanvu mu Gombolola y’e Kibinge.
Ono kigambibwa nti aliko ebyaama byabulidde akakiiko kano ebya Poliisi ebitakirizibwa kwogerwa.
Omwogezi wa Poliisi mubukiika ddyo bwa Yuganda Nsubuga Muhammad ategeezezza Radio Simba ku nsonga eno agambye nti ensonga yammundu nti era yabukulembeze bwa Poliisi (Administrative).
Akakiiko ka Palamenti kabadde kagenze okunoonyereza ku nsonga z’abatta abantu nga babatema mu Greater Masaka.
Bya Maggie Kayondo.
Share.

Leave A Reply