Breaking
News: Abakungu okuva mu Immigration bavuddeyo nebakakasa nga Munnamateeka era omulwanirizi weddembe Aloikin Praise Opoloje bweyakwatiddwa ku kisaawe News: Abanoonyi bobuddamu bakedde kwekalakaasiza ku kitebe kyAmawanga amagatte ekivunaanyizibwa ku banoonyi bobuddamu ekya United Nations High News: Nga 22 January 2027 ku Sheraton Gardens mu Kampala Omulangira Ndausi ategese ekivvulu kwagenda okujaguliza emyaka 35 mu media. Tubeeyo tumuwagire.
ON NOW Ebyemizannyo ▶ UP NEXT Tokammalirawo 2:00 PM - 4:00 PM
Now Playing · 241 listening Simba FM Live
ebyemizannyo show photo

On Air

Ebyemizannyo

Bruce Omutabizi

1:00 PM - 2:00 PM 1:00 PM - 2:00 PM
News

Pulezidenti Museveni akirizza abasinga nsimbi okuzimba ekisaawe ky’ennyonyi e Kidepo

November 9, 2023 · Mubiru Ali
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ng’akozesa obuyinza obumuweeebwa Ssemateeka wa Uganda akkirizza bamusigansimbi okuva mu Ggwanga lya United Arab Emirates (UAE) okuzimba ekisaawe ky’ennyonyi mu kkuumiro ly’ebisolo lya Kidepo Valley National Park.
Bino bivudde mu nsisinkano n’abakungu b’ekibiina ki Sharjah Chamber of Commerce & Industry nga bano babadde bakulembeddwamu Ssentebe w’olukiiko olufuzi, Abdullah Sultan Al Owais.
Pulezidenti alagidde bamusiga nsimbi bano okubeera abaagendereza nnyo nga bazimba ekisaawe kino baleme kukosa bisolo ebikuumibwa era n’abasuubiza okubasonyiwa emisolo singa enteekateeka eno gyebamwanjulidde etuukirizibwa bulungi kubanga egenda kwongera okutumbula eby’obulambuzi mu Ggwanga.