Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing · 206 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

Buli muyizi mu Makerere Yunivasite waakubalibwa

January 19, 2017 · Mubiru Ali

Akakiiko akateekebwawo Pulezidenti Museveni okunoonyereza ku bivaako okwekalakaasa kw’abayizi  mu Makerere Yunivasite kalagidde waabeewo okubala buli muyizi mu Yunivasite kibasobozese okumanya omuwendo gw’abayizi omutuufu.

Okusinziira ku kiwandiiko ekyafulimizibwa Academic Registrar wa Yunivasite,  Alfred Masikye Namoah ku lwokubiri lwa ssabbiiti eno, okubala buli mutwe gwa muyizi kugenda kutandika ku bbalaza nga 23 Gatonya , 2017.

Namoah agamba nti abayizi bonna balina okubaawo mu buntu ate mu bifo mwebanaaba balagiddwa okubeera. Abayizi abakadde balagiddwa okuba ne Densite zaabwe, empapula kwebaaweelwa ebifo ate abayizi abapya balina okuba n’empapula kwebeewandiisiza, kwebaaweelwa ebifo, Densite y’essomero lya Secondale oba  n’endaga muntu.

Wabula Namoah asabye abayizi okujjumbira enteekateeka eno era n’abalabula nti oyo yenna ataabalibwe waakuwanduukululwa mu biwandiiko bya Yunivasite.