Omusirikale wa Poliisi akubye owa Booda booda essasi mu kugulu

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Abatuuze b’e Jinja-Misindye mu Goma Division e Mukono bakedde kwekalakaasa nga balaga obutali bumativu bwabwe oluvannyuma lwa mutuuze munaabwe nga muzimbi abadde atambulira ku Piki piki nnamba UDM 199B ngaweese omuntu okukubwa esasi mu kugulu nga bamulaga obutagoberera kiragiro kya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni.Alex Oryem, yakubiddwa esasi mu kugulu okwa kkono ekiro kyajjo omusirikale ategeerekeseeko erya Gidudu nga musirikale ku Poliisi y’e Jinja-Misindye. Oryem asangiddwa ku ddwaliro lya Mukono General Hospital agamba nti abadde atwala mukwano ggwe Kasimu Ssebudde nga bagenda gyebazimba basobole okufuna akasente akasabola okubayisa mu kaseera kano akazibu.Ruth Kaweesa nga musawo ku ddwaliro e Mukono agamba nti Oryem wakulongosebwa kuba essasi lyasesebudde okugulu.

Share.

Leave A Reply