Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-Buli yegaanye nti tamanyi Muwanga gyali Kati yavuddewa? Yeyetutte ku Poliisi? News: Ku Mutoto Cultural Centre batongozza okusala Imbalu omwaka guno nga kino kyakukolebwa okutuusa December. News: Waliwo omusirikale wa Uganda Police Force eyakwatiddwa ku katambi nga kigambibwa nti byabadde mu kabuga ke Kibiri ku luguudo lwe Busaabala nga
▶ UP NEXT Gospel Show 7:00 AM - 9:00 AM
Now Playing ยท 182 listening Simba FM Live
News

Ababaka ba NRM temugeza nemuteeka emikono ku kiwandiiko kya Ssekikubo – Hon. Kinobere

June 4, 2024 · Mubiru Ali
Omumyuuka w’omwogezi wa kabondo k’Ababaka ba National Resistance Movement – NRM nga ye Mubaka akiikirira Kibuku County Herbert Kinobere avuddeyo nalagira Ababaka Bannakibiina kya NRM obutateeka mikono ku kiwandiiko kiggya bwesige mu Bakamisono ba Palamenti okutuusa nga bafunye okuwabulwa okuva ewa Ssentebe w’ekibiina.
Ono ayongeddeko nti singa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni abagaana okuteeka omukono ku kiwandiiko kino, abo abamaze edda okuteekako emikono bakuwalirizibwa okusazaamu emikono gyabwe.