Olukiiko lwa Baminisita luyisizza ekiteeso kyokugatta REA ku Minisitule y’ebyamasanyalaze

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Olukiiko lwa Baminisita lwayisizza ekiteeso kyokugatta ekitongole kya Rural Electrification Agency Uganda – REA ne Minisitule y’ebyamasanyalaze. Kino kiba kitegeeza nti REA kijja kubeera kitongole ekiri wansi wa Minisitule.
Tekinategeerekeka oba kino kizze lya kiragiro kya Gavumenti ekyokugatta ebitongole eby’enjawulo mu kugezaako okukendeeza ku nsaasanya oba. Wabula kinajjukirwa nti wabaddewo okusika omuguwa wakati wa Minisitule y’ebyamasanyalaze wamu n’ekitongole kya REA ekivunaanyizibwa kukutuusa amasanyalaze mu byalo ku nsimbi ezewolebwa okuva mu Bbanka y’ensi yonna World Bank.
Share.

Leave A Reply