Poliisi egaanye ekivvulu kya Chameleone e Bukomansimbi

Nga wakayita enaku ntono nnyo ng’omuyimbi Joseph Mayanja aka Jose Chameleone yegasse ku Democratic Party Uganda – DP, Poliisi mu ttundutundu ly’e Masaka esazizaamu ebivvulu bye.
Okusinziira ku Robert Nkuke aka Mutima, agamba nti Chameleone yabadde n’ebivvulu 3 e Mutukula n’e Kaliisizo mu Disitulikiti y’e Kyotera n’ekirala e Bukomansimbi ku wiikendi wabula Poliisi nebategeeza basooke ku kitebe ekikulu e Kampala bafune olukusa bwebaba baagala ayimbe. Wabula Nkukeke agamba nti luli kibadde nti olukusa olufuna okuva ku Poliisi y’omukitundu.
Nkuke agamba nti kino kyatandikidde ku kivvulu ekyabadde kirina okubeera e Bukomansimbi mu kisaawe ku lw’okutaano wabula Poliisi n’ezinda ekifo netandika okugoba abantu ababadde bayingidde nga basasudde 10,000/=.
Ono ye muyimbi ow’okubiri okugaanibwa okuyimba nga yegasse ku mubaka wa Kyaddondo East era Munnakisinde kya People Power – Uganda Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
bobi wine ne banne bazeeyo mu arua