BREAKING NEWS
Observer: R. Nguse boat accident: Five more bodies retrieved MBU: Aroma exposes industry pressures and unethical exchanges Observer: Works convenes joint meeting to streamline motor vehicle registration Pulse Uganda: Missing student Victor Katungi found East News: Uganda’s Participation in the International Criminal Court: Risks Outweigh Benefits East News: Kapelebyong’s Labira Girls School Faces New Challenges as Enrollment Surges MBU: Dr. Hilderman applauds Silver Kyagulanyi’s 60% role in drafting Copyright Act Pulse Uganda: Uganda conducts Africa’s first fish census

97.3 FM Kampala

92.1 FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

✓ ISO 9001:2015 Certified

Now Playing
Radio Simba Live

OKWOGERA KWA KABAKA KU LUNAKU LWA GAVUMENTI EZ’EBITUNDU NE BULUNGIBWANSI MU LUBIRI NGA 8 OCTOBER 2020

Buli lwetukuza olunaku lwa Bulungibwansi tuddamu okujjukira okusomoozebwa Buganda kweyiseemu okuviira ddala nga tetunnafuna bwetwaze n’okutuuka leero.
Ebintu bingi ebyakolebwa, efutwa, obuggya, obukyayi era ebimu bikyagenda mu maaso n’okutuuka kati. Newankubadde bino byonna byagenderera kusaanyawo Buganda naye byanyiga n’ebitundu ebirala ebya Uganda, ffe tulowooza nti okumalawo ebiwundu bino byonna n’okwongera okunyweza obumu bwa Buganda n’ebitundu ebirala, twetaaga obufuzi obujjudde obwenkanya, obugoberera amateeka n’okugabanya obunyiiza nga tugoberera ebyetaago bya buli kitundu.
Bwetudda ku nsonga y’obutonde bwensi, tulaba ebintu bingi ebiraga obutaba na mwoyo gwa Ggwanga nga bikolebwa ba nnantagambwako. Abamu kuffe twewuunya nti ensi yaffe erina amateeka n’ekitongole ekivunaanyizibwa ku butonde bwensi, amateeka gano gakola ddi era kwani? Gakoma awo mu makkati?.
Tusaba Gavumenti okubunyisa amasannyalaze mu byalo nga bweyasuubiza era n’okukendeeza emisolo ku bikola amasannyalze ag’enjuba. Kino kijja kuyamba abantu baffe naddala abali mu byalo okukendeeza ku kutema emiti nga banoonya eby’okufumbisa.
Nga maliriza nsaba abaami bakole butaweera okulaba nga obutonde bwensi bulwanirirwa, emirimu gino gyonna tusobola okujikola kasita tuba nga twegasse, jjuuzi ndowooza mwawulira nti waliwo abaali bagambye nti bambise nti ngeeze emagombe sikyali kunsi nti ebyange biwedde naye nga bwemulaba, nkyaliwo, bino byonna tusobola okubituukako singa tusobola okwegatta okukolera awamu n’okuba nga tuli muntu omu.
Nga bwetutuuse mu kiseera eky’okulonda, tusaba abalonzi mutunuulire nnyo abo abasobola okulaakulanya omuntu wa bulijjo n’okulwaniriria ebintu ebikulu Buganda byeyettanira.
Neebaza nnyo abateeseteese omukolo ogw’omwaka guno abo bonna aboogedde ebigambo ebirungi eby’enjawulo n’okuddamu okukulisa abawokota olw’obuwanguzi naabo abafunye ebirabo. Mwebale nnyo mwebalire ddala.

About Mubiru Ali

Radio Simba News Team — Broadcasting from Kampala, Uganda on 97.3 FM and online at www.radiosimba.ug

Leave a Reply