Okuziika omuntu mu ttaka lyo e Kampala olina okusooka okusaba olukusa okuva mu KCCA – Nuwabiine
Omwogezi w’Ekitongole kya Kampala Capital City Authority – KCCA Dan Nuwabiine avuddeyo nategeeza nti wadde okuziika omuntu mu bifo by’Ekibuga kisoboka nti wabula walina okubaawo okusaba olukusa, okwekeneenya ensonga eno wamu n’okuweebwa olukusa nga besigama ku mateeka okuli Public Health Act eritunuulira ekwata y’ebisigalira byabagenze nerya Physical Planning Act erirungamya enkozesa y’ettaka.
Nuwabiine agamba nti abo bonna abaviibwako abantu baabwe nga baagala okuziika mu Kibuga balina okusaba olukusa okuva mu KCCA.
Omulamuzi Kanyeihamba yalaama kuziikibwa mu maka ge e Buziga mu Kampala nga agamba nti yafuuka musajja wa Kabaka tebalina kumuzza ku butaka e Rubanda.
Wabula Nuwabiine agamba nti tanakitegeereko oba nga aba Famire bateekamu okusaba kwabwe okusobola okumuziika mu maka ge.
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni alagidde eyali Omulamuzi wa Kkooti Ensukkulumu Prof. George Wilson Kanyeihamba aziikibwe mu bitiibwa ebijjuvu olwomulumi omunene gweyakolera Eggwanga mu by’amateeka, ebyenjigiriza wamu n’ebyobufuzi.

