Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa? News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba.
▶ UP NEXT Gospel Show 7:00 AM - 9:00 AM
Now Playing ยท 140 listening Simba FM Live
News

Minisita Nandutu addukidde mu Kkooti etawulula enkayana za Ssemateeka

May 25, 2023 · Mubiru Ali

Okuwulira Omusango oguvunaanibwa Omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’e Karamoja Agnes Nandutu ogwokubba amabaati 2000 agaali agabantu abayinike e Karamoja kutandise olwaleero ku Kkooti ewozesa abakenuzi n’abali b’enguzi. Oludda oluwaabi lubadde lwetegese n’abajulizi 2 wabula Bannamateeka ba Nandutu okuli aba Alaka & Co. Advocates and Nandaah Wamukoota & Co. Advocates nga bakulembeddwamu Caleb Alaka bavuddeyo nebategeeza Kkooti nti baagala okuwulira omusango guno kuyimirirwe basooke balinde Kkooti etawulula enkayaana za Ssemateeka esooke ewulire ku kyomusango ogwaggulwa ku muntu waabwe ogw’okusangibwa n’ebintu ebiteeberezebwa okuba ebibbe kuba mugazi nnyo nga guleetawo n’emisango emirala 2 nti era tegwannyonyolwa bulungi nga Ssemateeka bwekirambika.
Alaka ategeezezza Omulamuzi Jane Okuo Kajuga nti yadde babamaze okuteekayo okwemulugunya kwabwe mu Kkooti etatulula enkayana za Ssemateeka nga bawakanya omusango guno, Kkooti nayo erina okwekeneenya obulungi omusango guno eveeyo n’ebibuuzo ebyayo.