Okusigala mu Uganda nga Kyagulanyi ye Pulezidenti lwakiri nfa – Asuman Basalirwa
Munnakibiina ki JEEMA Asuman Basalirwa; “Sirina buzibu bwonna na Kyagulanyi (Bobi Wine), wabula annumba nnyo nze n’abantu bange. Yakikolako n’emyaka 2 egiyise e Bugiri. Bangamba akikola olwokuba nkolagana bulungi ne Sipiika wa Palamenti. Wabula muwa amagezi nti obudde abumalire kukuwangula Obukulembeze bw’Eggwanga ate akimanye nti tasobola kufuga Uganda nga ffe abalala atusudde bbali.
Nagezaako okwogera naye, wabula yambulokinga buli wamu ne ku social media. Muganda waffe Kyagulanyi yakyuukira ddala okuva ku muntu gwetwali tumanyi. Sibwatyo bweyakolanga ebintu bye era twebuuza kiki ekyamutuukako.
Nkubuulira ku ddaala eryobutaguminkiriza balala Kyagulanyi lyaliko, namala afuuka Pulezidenti, nze nina kubeera mu buwanganguse, kkomera oba mufu.”
#ffemmwemmweffe

