Ogwa Nicholas Opiyo gwongezeddwayo mu March

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Ssaabawaabi wa Gavumenti avuddeyo nasaba Kkooti ebaweeyo omwezi omulala gumu bamalirize okunoonyereza ku mulwanirizi w’eddembe era Munnamateeka Nicholas Opiyo ku misango gya ‘money laundering’.
Oludda oluwaabi lutegeezezza omulamuzi wa Kkooti ento mu Kampala Moses Nabende nti okunoonyereza ku Opiyo kukyagenda mu maaso ekiwalirizza omulamuzi okwongezaayo omusango okutuusa nga 2 – March – 2021. Opiyo yateebwa ku kakalu ka Kkooti ka bukadde 15.
Share.

Leave A Reply