Breaking
News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka,
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Ekiggunda 8:00 PM - 12:00 AM
Now Playing · 144 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Commentary Team

2:00 PM - 8:00 PM 2:00 PM - 8:00 PM

Amagye gatandise okunoonyereza ku mujaasi eyasse banne e Kasijjagirwa

July 8, 2016 · Mubiru Ali

Amagye ga Yuganda gagamba  nti gatandise okunoonyereza ku mujaasi eyakubye banne amasasi mu nkambi y’amagye ey’e Kasijjagirwa nga yabakuba lwakusatu lwa ssabbiiti eno . 

Private Joseph Arioni yakuba abajaasi babiri amasasi nebafiirawo era n’akuliita n’emmundu zaabwe  nga bano baali bakuuma tterekero lya byuma ebikozesebwa mu mmundu .

Ye Captain Benon Mutatina aduumira enkambi eno agamba nti amagye ganoonyereza nga kiyinzika okuba nga Omujaasi ono abaddeko n’abajaasi abalala baakolagana nabo basobole okubba eby’okulwanyisa ebiwera .

Wabula omubaka wa Pulezidenti e Masaka Joe Walusimbi ate nga ye ssentebe w’akakiiko k’ebyokwerinda mu Disitulikiti ye Masakaagamba nti bakubye olukungaana lw’ebyokwerinda basalire ensonga eno eggoye .

Walusimbi ayongerako nti emirambo gy’abajaasi abattiddwa giweereddwa  bannannyinigyo  .