Muyite mu makubo amatuufu okugenda ebweru – AIGP. Yiga

Poliisi erabudde abaana bonna ab’obuwala abaagala okugenda okukolera ebweru w’eggwanga okwewala okutwalibwa abantu ssekinoomu okwewala okuwambibwa, okuttibwa wamu n’okubatundamu ebitundu by’emibiri eby’enjawulo.

Akulira Interpol Uganda AIGP. Fred Yiga bw’ababadde asisinkanye ababaka b’ebitebe by’amawanga agenjawulo mu agambye nti abaana bangi abagendera mu makubo amakyamu bafundikira battiddwa oba nga batundiddwa nga baddu.

Ayongeddeko n’agamba nti Poliisi esanga obuzibu bw’amaanyi okununula abo ababa bawambiddwa kuba bakama baabwe baba basaba okubaddiza ssente zebaba babagula eziri wakati w’obukadde 11-22 buli omu nga kitegeeza ab’enganda zaabwe baba betaaga obukadde 38 okusobola okuzza omuntu waabwe.

Poliisi okusobola okulwanyisa kino yakola enkyukakyuka mu Certificate ya Good Conduct kuba baali batandise okukolamu ebiccupuli. Yagambye nti Certificate eno efunibwa ku offiisi za Interpol e Kololo wokka ku shs 64,000/=

Yayongeddeko nti Interpol erina omufere gweyazudde nga yagulawo omukutu gwa website nasaako essimu nga eri mu mannya ga Alex Ndyezekire nga abadde yeyita mukoze wa Immigration nabba abantu abatamanyi.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

Top Reviews

More Stories
kattikiro atongozza enkola ya luwalo lwaffe 2019