Obwakabaka bukungubagidde omulamuzi wa kkooti ensukulumu eyawumula Prof. George Wilson Kanyeihamba
Obwakabaka bukungubagidde omulamuzi wa kkooti ensukulumu eyawumula Prof. George Wilson Kanyeihamba eyaffa nga ennaku z’omwezi 14 omwezi guno.
Katikkiro Charles Peter Mayiga atuuseeko e Buziga ewakumiddwa olumbe okukubagiza ab’enju ya Kanyeihamba era amwogeddeko nga omuntu abadde alwanirira enfuga ey’amateeka mu ggwanga nga ayogera ekintu ekimuva ku mutima awatali kwelumamu.
Katikkiro ategezezza nti Prof. Kanyeihamba abadde teyegulumiza nnyo mu bulamu bwe newankubadde nga abadde muyivu nnyo era nga buli muntu amuwa ekitiibwa ekimuggwanidde.
Owoomumbuga agasseeko nti newankubadde nga ono abadde Mukiga, abadde ayagala nnyo Kabaka era nga ensonga zonna ezikwata ku Bwakabaka azenyigiramu butereevu.
