Nzeyi lwaki wagula ettaka nga likyaliko lease – Bamugemereire

Omusuubuzi ow’erinnya Amos Nzeyi naye alabiseeko mu kakiiko kebyettaka akakulirwa Omulamuzi Catherine Bamugemereire ku nsonga ezekuusa ku mivoyo gy’ettaka ly’e Ttemangalo eryaguzibwa NSSF era nga ono awerekeddwako Lawyer we Fred Muwema. Kigambibwa nti ono alina okunnyonyola engeri gyeyagulamu ettaka erisangibwa e Ttemangalo mu Busiro County – Mengo nga tanaliguza NSSF mu 2008.

Kigambibwa nti ettaka lino likayanirwa Family emu ey’Abayindi abagamba nti balina ekyapa ekituufu era nga ettaka lyabwe liweza acres 366 nga kwaliko essamba y’emmwannyi nga tebanagobwa Amin mu 1972. Nazim Moosa, yalabikako mu maaso ga kakiiko nannyonyola nti ettka erya balifunako lease yamyaka 79 mu 1944 okuva ku family ya Daniel Mugwanya Kato. Nzeyi agamba nti yakozesa bannamateeka abakugu aba Ssebalu and Lule Company Advocates wamu ne Prince Abbas Mawanda mukugula ettaka eryo basuubira nti baali tebasobola kumuwabya. Era avuddeyo nawakanya ebibadde byogerwa nti yatakwatibwako era nagamba nti neyaliko Ssaabaminista John Patrick Amama Mbabazi ebyettaka lino talina kyabimanyiiko.

Ettaka lino eryogerwako Nzeyi yaliguza NSSF obuwumbi 11 nga zino zonna nsimbi eziterekebwa abakozi.

 

0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply