BREAKING NEWS
Observer: Why Muhoozi Kainerugaba will be a weaker opponent Observer: Lukwago’s arrest puts rule of law on trial MBU: I thought I was too cool to get HIV – MC Kats reveals mystery MBU: King Saha announces 2026 concert at Kololo Independence Grounds Pulse Uganda: Digital number plate delays leave vehicles stranded across Uganda Red Pepper: HUGE SCANDAL! Newplan Boss Omulen Cited In Fake Money Racket As 11 Are Caged Over Sh11bn ‘Industrial Park’ Land Scam Red Pepper: WAKISO DISTRICT IMPUNITY! Fired Worker Wins Sh36m Court Payout East News: SFC Soldiers Pick Up Former Kampala City Mayor, Elias Lukwago East News: Kabanda Sacked as PLU Secretary General Pulse Uganda: Police apologise for misinformation about death of DTB customer, clarify circumstances

97.3 FM Kampala

92.1 FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

✓ ISO 9001:2015 Certified

Now Playing
Radio Simba Live

nze siwagira ffujjo – bobi wine

Omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine; Nkitegeddeko nti ekibinja ky’abantu kyakungaanidde wabweru wa Leediyo nekirumbagana Dr. Kizza Besigye bweyabadde ava mu situdiyo. Bangi ku bano babadde bayimba People power. Kibi nnyo!
Ekisooka, nkiddingana lunye nti People Power si kisinde ky’abakozi baffujjo. Tetukiririza mukutulugunya yadde okukola effujjo ku muntu yenna. Njagala ntwala omukisa guno okutegeeza abawagizi baffe bonna okwetoloola eggwanga lyonna nti tetukiririza mu ffujjo yadde okutulugunya omuntu yenna wadde atuwagira oba tatuwagira.
Ekirala tukiririza mukwegattira awamu okusobola okuleetawo enkyuukakyuuka, era nga Dr. Kizza Besigye mpagi y’amaanyi nnyo mukuleetawo enkyuukyuka nga tuli wamu n’abasajja wamu n’abakazi abewaddeyo okununula eggwanga lino.
Newankubagadde wayinza okubaawo okwawukana mu bukodyo wamu n’enkola eziyinza okuyitwamu okuleetawo enkyuukakyuuka, tulina okuwa buli muntu ekitiibwa. Tetusobola kwerwana, ffenna tulina kuteeba mu ggoolo emu.
Kunsonga eno yennyini tukyagezaako okuzuula obukakafu n’obutuufu bw’ekintu kino ekyabaddewo, kuba bw’oba ozze ogoberera eby’obufuzi bya Yuganda okimanyi bulungi nti ebintu nga bino bibadde bitegekebwa Gavumenti wamu n’abantu abalala okutuukiriza ebigendererwa byabwe.

Ffe kyetulina okukola kwekugenda mu maaso nga tukolera wamu n’abantu abaagala enkyuukyuka mu ggwanga nga Dr. Besigye mwomutwalidde tusobole okutuuka ku buwanguzi. Tetujja kukiriza muntu yenna yadde ekintu kyonna okutujja ku mulamwa ku nsonga eno ey’omuzinzi gyetuliko.
#TutuvaKuMulamwa

About Mubiru Ali

Radio Simba News Team — Broadcasting from Kampala, Uganda on 97.3 FM and online at www.radiosimba.ug

Leave a Reply