97.3 FM Kampala 921. FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

Now Playing
Radio Simba Live
News

NUP esabidde Ssenteza e Masaka

Abakungu okuva mu kibiina kya National Unity Platform nga bakulembeddwamu Pulezidenti w’ekibiina, Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine, akulira oludda oluvuganya Gavumenti omuggya Joel Ssenyonyi n’omubaka w’ekitundu kya Nyendo – Mukungwe, Owek. Mathias Mpuuga Nsamba bakungaanidde ku kyalo Kirowooza mu Masaka mu kusaba kw’okujjukira eyali omukuumi wa Kyagulanyi, Frank Ssenteza ng’ono yatomerwa emmotoka n’afiirawo mu kunoonya akalulu ka 2021.
Abantu bakyagenda mu maaso n’okweyiwa mu kusaba kuno era eby’okwerinda binywezeddwa okwewala ebiyinza okutabangula embeera.

Leave a Reply