NRM esaasanyizza obuwumbi obusoba mu 40 ku Bannakibiina e Kololo
Bannakibiina kya National Resistance Movement – NRM abagenze mu ttabamiruka nga balina abaana bawulirwa mu katambi nga babanja ssente emitwalo 40 zebabasuubizza okuwa abakozi baabwe nga zino bwozigatta ku kakadde akamu mu emitwalo 60 ezibaweereddwa buli omu abeera afuna obukadde 2 nga abamu bafunye okutuukira ddala ku bukadde 3.
Ku bantu 25000 abazze kiba kitegeeza nti obuwumbi obusoba mu 40 bwebusaasanyiziddwa.

