Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing · 320 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM
News

Abayizi 1261 batikkiddwa ku Buganda Royal Institute oluvannyuma lwokumalako emisomo gyabwe.

January 30, 2026 · Radio Simba

Abayizi 1261 batikkiddwa ku Buganda Royal Institute oluvannyuma lw’okumalako emisomo gy’abwe.

Ku batikkiddwa 736 bawala, ate 525 balenzi. Abayizi 637 bafunye satifikeeti, 420 diploma.

Kamalabyonna Charles Peter Mayiga, yatikkidde abayizi bano, n’ategeeza nti e ky’ettunzi Uganda kyesinga okuba nakyo gwe mugigi omuto wabula ssi bya bugagga eby’omuttaka abasinga byebalowoolezaamu. Agamba nti omugigi omuto bwegufuna obukugu obw’enjawulo, guyambako eggwanga okufuna mu by’obugagga eby’ensibo omuli amafuta, zzaabu n’ebirala.

Asabye abatikkiddwa obutapapira kwekozesa nti kikulu nnyo okusooka okukolako n’abo abaaakolako edda bamanye bwe bitambula. Abategeezezza nti newankubadde nga babanguddwa, kirungi bekwate abo abalina obumanyirivu babayigireko era n’abasaba obutatya kukozesebwa.

Minisita w’Ebyenjigiriza n’Enkulaakulana y’Abantu mu bwakabaka, Oweek Choltilda Nakate Kikomeko, ategeezezza abayizi abatikkiddwa nti waliyo bannaabwe eyo mu Nsi ebitundu 42% abataafuna mukisa gwa kusoma, era buvunaanyizibwa bwabaso

Radio Simba News