Norbert Mao siwakulekulira kifo kye – DP

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Pulezidenti wa Democratic Party Uganda Norbert Mao tagenda kulekulira kifo kye nga Pulezidenti wa Democratic Party Uganda – DP oluvannyuma lw’okulemererwa okuweza ababaka 15 mu Palamenti mu kalulu akakakomekerezebwa.
Kinajjukirwa nti Mao bweyali atangaaza ku kya Bannakibiina okwabulira ekibiina nebagenda begatta ku National Unity Platform – NUP ekya Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine, Mao yategeeza nga DP bweyali ekyalina bammemba eŋŋwaŋŋuli abaali balina obusobozi bwokuwangula akalulu era nategeeza nti singa alemererwa okufuna ababaka 15 yali wakulekulira ekifo kye.
Abantu ab’enjawulo bavuddeyo nebasaba atuukirize ekigambo kye alekulire oluvannyuma lw’okufuna ababaka 9, wabula omwogezi w’ekibiina Enock Opio Okoler yategeezezza abamawulire nti Mao tasobola kulekulira kifo ngasinziira ku kalulu akabaddemu emivuyo egitagambika nti era tekabadde kamazima nabwenkanya.
Okoler agamba nti okusinziira ku mivuyo egyabadde mu kalulu DP ewakanya ebyavudde mu kulonda era tewali asaanye kujaganya.
Share.

Leave A Reply