Breaking
News: Omulondo mbu bwogulya ogejja ekitalabika! Omuwuulu ye musajja ayita ku ndiga ensajja nemulaawa! News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa manyumya nebiwooma girindirire buli kiro ku ssaawa nnya. News: Minisita avunaanyizibwa ku Gavumenti ezebitundu Balaam Barugahara Ateenyi alidde matereke nomukulu wessomero.
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 231 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM
News

Abasirikale ba Military bateekeddwa ku nguudo okuyamba ku ba Traffic – Col. Deo Akiiki

June 17, 2024 · Mubiru Ali

Omumyuuka w’omwogezi w’eggye lya UPDF Col. Deo Akiiki avuddeyo nategeeza nti nga eggye lya UPDF bweriyungudde Abasirikale baalyo okuva mu Military Police Traffic Department okuyambako abasirikale ba Uganda Police Force abavunaanyizibwa ku bidduka mukukwasisa amateeka g’okunguudo oluvannyuma lw’abakulu mu UPDF okuvaayo nebemulugunya ku neeyisa yabagoba b’ebidduka.
Akiiki agamba nti ekigendererwa mulimu nokukwata abo abakozesa ebyambalo by’amaggye nga tebalina lukusa olwo nebabikozesa okumenya amateeka gokunguudo n’okutiisatiisa abasirikale.
Bano era bakuyambako ku basirikale ba UPDF abakozesa obubi enguudo. Ebikwekweto bino bigenda kubeera ku nguudo ez’enjawulo mu Kampala n’emiriraano.