NALEMEREDDWA OKUGENDA E ZAMBIA

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Omukulembeze wa National Unity Platform – NUP Hon. Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine avuddeyo; “Ekiro kyajjo nayogedde n’olukiiko oluteekateeka omukolo ogwanjula Pulezidenti wa Zambia omuggya Hakainde Hichilema nebentodera nga bwesisobole kubeerawo ku mukolo guno ogw’enjawulo kuba nagezezzaako kyonna kyensobola okugenda e Zambia naye nenemesebwa. Njakunyonyola byonna ebyabaddewo ku kino.
Baganda bange ab’e Zambia mwebale kutulaga kubo. Guno mulimu gwaffe abomulembe guno okulaba nti wabaawo okuwanyisa obuyinza mu mirembe era kibeera kyabulijjo ku lukalu lwomuddugavu. Katonda abeere Zambia. Katonda abeere Yuganda. Katonda abeere Afririka.”
Share.

Leave A Reply