Eyaliko omubaka okuva mu ttundutundu ly’e Acholi Hon. Odonga Otto avuddeyo nayambalira Ababaka okuva mu Acholi abavuddeyo nebakunga banaabwe okusonda obuwumbi 2 obwakozeseddwa okutwala Sipiika Jacob Oulanyah okufuna obujanjabi mu Amerika nagamba nti bali mu katemba yennyini. Agamba nti bamaze emyaka 2 nga basonda obuwumbi 3 n’obukadde 500 okugulira eddwaliro lya Lacor CT scan nga kaakano balinawo obukadde 100 bwokka! Abasabye bave mutulo ne katemba, agamba nti ng’omuntu yawaayo obukadde 11 kukusonda CT Scan.
Muve mu katemba, ebya Jacob Oulanyah mubiveeko – Odonga Otto
Share.