Mutabani wa Tanga, Collins awangudde ekya NRM Youth League
Collins Tanga ngono mutabani wa Ssentebe w’Akakiiko k’ebyokulonda mu National Resistance Movement – NRM alangiriddwa ku buwanguzi bwa Ssentebe wa NRM Youth League oluvannyuma lwokufuna obululu 1567 ate munne bwebabadde ku mbiranye Brenda Kiconco nafuna obululu 1355. Collins alangiriddwa kitaawe Dr Tanga Odoi.

