Museveni asooke yegobeko ababbi batambula nabo okusinga okulimba Bannayuganda
Omubaka wa Kira Municipality Munnakibiina kya People’s Front for Freedom Ssemujju Ibrahim Nganda agamba nti Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni okulwa mu buyinza kimuleetedde okukola ebyo ebimusobozesa okusigala mu buyinza nti era nabo abamulya mu ngalo abamukuumira mu buyinza abaleka nabo okukola byebaagala. Agamba nti kuba kulimba Bannayuganda nti agenda kulwanyisa nguzi so nga muluseregende lwatambuliramu mulimu ababbi okugeza ababba amabaati g’abantu abayinike e Karamoja.
Bya Kamali James

