Munyagwa atongozza ekibiina ekikye
Olunaku olwaleero Ekibiina kya Common Man’s Party ekyakyuusiddwa okuva mu formerly Uganda Economic Party nga kino kyasooka kuwandiisibwa nga 14, December, 2004, wabula nga kibadde tekirina wekiwulirwa mu nsonga z’ebyobufuzi kitongozeddwa era eyaliko Omubaka wa Kawempe South Mubarak Munyagwa Sserunga nalayizibwa nga Pulezidenti waakyo olwo Moses Bigirwa nalondebwa ku bwa Ssaabawandiisi bw’Ekibiinna ng’omukolo gubadde ku Jacaranda Gardens e Lubaga.
Mutazindwa Muhammad ngayavuganyaako ku kifo ky’Omubaka wa Kawempe North alondeddwa okubeera omumyuuka wa Ssentebe w’Ebyokulonda.

