Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 301 listening Simba FM Live

Munnansi wa German afiiridde mu Yuganda lwakubulwa bukadde 30

May 7, 2020 · Mubiru Ali

Kitalo!Munnansi wa German Benn-Han Glazer eyakwatibwa navunaabibwa emisango 15 okwali okukabasanya abaana wamu n’okubakukusa mu Kkooti e Masaka wabula natwalibwa mu Ddwaliro e Mulago nga afunye ekirwadde kya Kkookolo w’olususu era olwokufunanga obujanjabi afudde enkya yaleero. Ono yakyuusibwa nagibwa mu kkomera e Masaka nebamutwala e Luzira. Wabula ono yasaba ateebwe ku kakalu ka Kkooti adde ku butaka e Germany afune obujanjabi obusingako wabula Kkooti nesaba obukadde 30 obwakakalu kaayo ezalema abantu be okufuna bwatyo nazzibwa ku alimanda.