Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo tukulinze wano ku simba e Bukoto okiikirire ekika kyo News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule News: Luggya Bossa Tabula ne kizibwe we Luggya Noah bakirizza omusango gwokutta eyali akulira ekika kyEndiga Lwomwa omubuze Eng. Kakeedo Bbosa Luggya mu
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing ยท 909 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Police egudde mu kabondo k’ababbi ba Pikipiki

April 18, 2018 · Mubiru Ali

Police e Mubende egudde mu kabondo k’ababbi ba pikipiki ababadde bazibba nebazitemaatema ssipeeya.ย 

Aduumira Police e Mubende , Martin Okoyo ategeezezza nti obubbi buno bano babadde babukolera Kangulumira mu South Division mu Munisipaali y’e Mubende

Annyonnyodde nti okukwata bano bayambiddwako abavuzi ba boda boda ababatemezzaako nebabatwala bano gye basumululira pikipiki era nga pikipiki ebakwasiza ya kika kya Bajaji nnamba UEO 780C gye babba ku Ssemakula Ronald gye buvuddeko.

Martin Okoyo wano w’ansinzidde n’alabula abavuzi ba boda boda e Mubende okukomya okupangisa abantu pikipiki bebatamanyi kubanga bano bekobaana n’ababbi nebagenda batema pikipiki zaabwe ssipeeya olwo nebadda nebabategeeza nga bwe bazibabbyeko!!