Munnamawulire wa BBS Kenneth Kavulu akuumirwa ku Poliisi e Kabalagala

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Ekitongole ekirwanirira eddembe lya Bannamawulire mu Ggwanga ekya Human Rights Network For Journalists-Uganda kivuddeyo nekitegeeza nga Munnamawulire wa BBS Terefayina Kavulu Kenneth eyawambibwa abasajja abaali mu ngoye ezabulijjo abaali batambulira mu motoka ekika kya Toyota Mark II nnamba UAQ 024G bweyali ava ku mulimu e Bulange Mengo nga 13-Sept-2022 bwakuumirwa ku Uganda Police Force e Kabalangala ku misango egitanategeerekeka.
BBS Terefayina era evuddeyo ku mukutu gwa Twitter netegeeza nga omwogezi wa Kampala Metropolitan Police Patrick Onyango bwakakasizza nga bwebamulina nti era balina byebamunoonyerezaako.
Share.

Leave A Reply