Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa.
News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu
News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
Omujulizi muguvunaanibwa Lwakataka talabiseeko
April 10, 2019 · Mubiru Ali
Okuwulira omusango gw’okwonoona ebintu wamu n’okulumya abantu b’e Kiwanga mu Disitulikiti y’e Mukono oguvunaanibwa omuvuzi w’emotoka z’empaka Ponsiano Lwakataka ne munne John Ssekitooleko kwagudde butaka olunaku lw’eggulo mu kkooti e Mukono.
Lwakataka yabadde azeeyo mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka Patience Koburunga wabula omujulizi wa Gavumenti natalabikako bwatyo omulamuzi nagwongerayo okutuusa nga 6-May-2019.