BREAKING NEWS
Observer: Uganda, Burundi proudly represented through Australia at World Cup Observer: Until governments act, Africans will seek Western citizenships MBU: I thought I was too cool to get HIV – MC Kats reveals mystery MBU: King Saha announces 2026 concert at Kololo Independence Grounds Red Pepper: HUGE SCANDAL! Newplan Boss Omulen Cited In Fake Money Racket As 11 Are Caged Over Sh11bn ‘Industrial Park’ Land Scam Red Pepper: WAKISO DISTRICT IMPUNITY! Fired Worker Wins Sh36m Court Payout East News: SFC Soldiers Pick Up Former Kampala City Mayor, Elias Lukwago East News: Kabanda Sacked as PLU Secretary General Pulse Uganda: Lukwago taken from home by security operatives Pulse Uganda: Nigerian producer ePianoh urges more collaborations with Ugandan artistes

97.3 FM Kampala

92.1 FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

✓ ISO 9001:2015 Certified

Now Playing
Radio Simba Live

Munnamateeka atutte Bobi Wine, Joel Ssenyonyi, Kizza Besigye ne Attorney General mu kkooti

Oluvannyuma lw’omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine okuvaayo nalangirira olukiiko lw’abantu bagenda okukola nabo mu kisinde kye ekya People Power – Uganda okunoonya akalulu mu 2021 wamu ne Munnakibiina kya Forum for Democratic Change Change Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye naye okulangirira kabinenti ye mu kisinde kya The Peoples Government – PG, waliyo Munnayuganda avuddeyo nabakuba mu mbuga nga agamba nti batyobodde Ssemateeka.
Ntare Adnes Rutaro nga nzaalwa mu Gombolola ye Ruhaama mu Disitulikiti y’e Ntungamu atutte omubaka Kyagulanyi Ssentamu, omwogezi w’ekisinde kya People power our Power Joel Ssenyonyi , Kizza Besigye ne Attorney General mu Kkooti nga abavunaana okukozesa obuyinza obuweebwa ekibiina ky’ebyobufuzi ekiriwo mu mateeka nga kiwandiise nebabukozesa mu bisinde ekimenya akatundu 72(2) aka Ssemateeka wa 1995.
Ate ye Attorney General amuvunaana olwobutakozesa buyinza bwe obumuweebwa Ssemateeka mu katundu 119(4)a aka Ssemateeka wa 1995.
Rutaro agamba nti Omubaka Robert Kyagulanyi Ssentamu, Joel Ssenyonyi ne Kizza Besigye banyoomodde obuyinza bwa Ssemateeka, obuyinza bwa Palamenti ekola amateeka, okukozesebwa kwa Ssemateeka mu byobufuzi, demokulasiya, n’obuyinza bwa Bannayuganda.
Ono ayagala Kkooti eveeyo eragire ebisinde bino biyimirize emirimu gyonna gyebikola okutuusa nga byewandiisizza nga ebibiina by’ebyobufuzi. Emirimu egikolwa ab’ekisinde kya ‘ People power Movement’, ‘People Power – Uganda’, ne ‘ People Power Our Power‘ omuli okukozesebwa okukunga abantu mu by’obufuzi wamu n’okwewandiisa okusobola okulonda mu kalulu, okukungaanya obuyambi wamu n’okuwa abaagala okwesimbawo omwagaanya okukozesa ekisinde nga tiketi nga bino byonna bikirizibwa kibiina kyabyabufuzi ekiwandiise mu mateeka.

About Mubiru Ali

Radio Simba News Team — Broadcasting from Kampala, Uganda on 97.3 FM and online at www.radiosimba.ug

Leave a Reply