Breaking
News: Eyaliko Sipiika wa Palamenti Annet Anita Among olunaku lweggulo yalabiseeko mu lutuula lwa Palamenti oluvannyuma lwenaku 83, ngayita ku mukutu News: Tosubwa concert ya Ray G ku Sunday eno nga 9 August ku kisaawe e Kololo. News: Mu lutuula lwa Palamenti olwaleero Omubaka Omukyala owa Kampala Munnakibiina ki National Unity Platform Hon.
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 398 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Abasembye Ojok muli bagezi nnyo – Eng. Badru Kiggundu

April 28, 2022 · Mubiru Ali
Eyaliko Ssentebe w’Akakiiko kebyokulonda aketengeredde aka Independent Electoral Commission Uganda Eng. Badru Kiggundu yavuddeyo neyeyama okuwagira mutabani w’omugenzi Jacob Oulanyah ku kifo ky’omubaka wa Omoro County wadde talondera mu kitundu kino.
Andrew Ojok yalondebwa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni okukwatira ekibiina kya National Resistance Movement – NRM bendera nga agamba nti ye muntu omutuufu okuddira kitaawe mu bigere okumalayo emyaka 4.
Kiggundu yategeezezza nga Pulezidenti Museveni ne ttiimu ye bwebakola okusalawo okutuufu kwatalabangako kuba Ojok alina obusobozi obuweereza abantu bomu Omoro okusinziira ku magezi ge.
Kiggundu nga kati ye Ssentebe wa bboodi ya NWSC yabyogeredde mu kibuga Gulu bweyabadde akwasibwa ettaka lyokuzimbako etterekero ly’amazzi mu kitundu ekyo.
Kiggundu eyamala emyaka 14 ku bwa Ssentebe bwa EC okutuusa mu 2016 bweyakwatibwa ku nkoona yanenyezebwa aboludda oluvuganya Gavumenti olwokuwagira Pulezidenti Museveni wamu ne NRM.
ย 
Bya URN