97.3 FM Kampala 921. FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

Now Playing
Radio Simba Live
News

Munnamateeka agambibwa okubba ssente za Prof. Kanyeihamba asindikiddwa e Luzira

MunnamateekaAndrew Obam 38 asindikiddwa ku alimanda okutuusa nga 14-July-2025 mu kkomera e Luzira kubigambibwa nti yabba ssente zeyali omulamuzi wa Kkooti Ensukulumu George Wilson Kanyeihamba eziwerera ddala emitwalo gya ddoola 56,800.
Obam yakwtiddwa Akakiiko okuva mu maka g’Omukulembeze w’Eggwanga akalwanyisa obuli bw’enguzi.
Kigambibwa nti Obam yakwatiddwa oluvannyuma lwokulemererwa okusasula ssente nga bweyasuubiza.
Omulamuzi w’eddaala erisooka Paul Mujuni ategeezeddwa nti wakati wa October 2022 ne September 2024 mu Bank of Africa mu Kibuga Kampala, Obam yaggyayo ssente obukadde 200 ezateekebwa ku akawunti ya kkampuni ye eya Loi Advocates gyali nabalala mu ngeri eyekifere.
Okusinziira ku ludda oluwaabi ssente zino zateekebwa ku akawunti ya Loi Advocates nga bakozesa cheque za Prof. Kanyeihamba 86, enzibe.
Obam takiriziddwa kwewozaako olwokuba omusango gwavunaanibwa gwa nnaggomola oguwulirwa Kkooti Enkulu.
Bya Christina Nabatanzi
#ffemmwemmweffe

Leave a Reply